Days of Remembrance

Ganda · Bahá'u'lláh

BH00155WOU BH00155WOU

Add range:

Esomwa omulundi gumu mu saawa abirimu nnya.

Buli ayagala okusoma essaala eno ayimirire akyukire Katonda, era bwaba nga ayimiridde, bwatyo atunule ku dyo ne ku kkono nga alinga alindirira ekisa kya Mukamawe, Asinga bonna ekisa, era Omusaasizi:

  • Ayatule nti:

Ayi Ggwe Mukama ow’amannya gonna era Omutonzi w’eggulu! Nkwegayirira olwabo Ensulo ez’olunaku wenono yo ekutalabika, Ggwe agulumizibwa ennyo, nyini kitiibwa kyonna, okufuula essaala zange omuliro ogunayokya entimbe ezindobera okulaba obulungi Bwo, era eketangaala ekirinkulembera okuntuusa mu nnyanja y’okubeerawo Kwo.

Olwo ayimuse emikono gye nga yegayirira Katonda - Aweebwe omukisa era Agulumizibwe, era ayatule nti: Ayi Ggwe Eyegombebwa ensi era Omwagalwa w’amawanga gonna! Ggwe ondaba ddala nga nkyukidde gyooli, era nga negye ku birala byonna wabula Ggwe, era nga nenyosezeza ku luwuzi Lwo olunyenya, bwe gunyenya, ebitonde byoona ne biyuguuma. Nze ndi muwereza Wo, Ayi Mukama wange, era omwana w’omuwereza Wo. Laba nyimiridde nga neteeseteese okukola Ggwe ky’oyagala era ky’osiima, era nga setaaga kirala kyonna wabula essanyu Lyo eddungi. Nkwegayirira kulw’ennyanja y’okusaasira Kwo n’omunyenye eye kisa Kyo okukozesa abaddu Bo nga bw’oyagala era nga bwosiima. Kulw’amannyi Go agatayogerekeka era agataytendeka! Ekyo kyonna kyoyolesa kwekwagamba kw’omutima gwange era kwe kusiima kw’omwoyo gwange. Ayi Katonda, Katonda wange! Totunuulira kusuubira kwange newankubadde ebikolwa byange naye tunulira okusiima Kwo okubunye eggulu n’ensi. Kulw’erinya Lyo erisinga amannya gonna, Ayi Ggwe Mukama w’amawanga gonna! Negomba ekyo kyoka Ggwe ky’osiima era njagala ekyo Ggwe kyoka gwe’ky’oyagala.

  • Awo afukamire avvuname nga ekyenyi kye kiri ku ttaka ayatule nti:

Oliwattendo nnyo okusinga okunnyonyola kw’omuntu yenna wabula Ggwe, era okutegeera kw’omulala yena okugyako Ggwe.

  • Olwo ayimirire ayatule nti;

Fuula essaala yange, Ayi Mukama wange, ensulo y’amazzi ag’obulamu olwo ndyoke mpangaale nga Obwakabaka Bwo bwe buliwangaala era akwatule mu buli nsi eyensi Zo.

  • Olwo addemu ayimuse emikono gye ng’awanjagira Katonda, aYatule nti:

Ayi Ggwe mukukwawukana Ko emitima n’emyoyo mwegigwerimu amaanyi, era mu muliro gw’okwagala kwo ensi yonna mwekoleledde oluyiira n’ebengeya! Nkwegayirira kulw’erinya Lyo eriwangudde ensi yonna, oleme kunyima ekyo ekiri Nawe, Ayi Ggwe afuga abantu bonna! Ggwe olaba, Ayi Mukama wange, omugwira ono nga yeyuna okutuka mu makaage agasingira ddala ettendo wansi w’ekisikirize ky’Obwakabaka Bwo, era kumulirano gwo okusaasira kwo, omwononyi ono, nga anoonya ennyanja y’okusaasira Kwo, era omwetoddaze ono, okutuuka mu mbuga y’ekitiibwa Kyo; Omunkuseere ono mubuggaga Bwo. Obuyinza Bubwo okulagira nga bw’oyagala. Mpa obujuluzi nti otekeddwa okutenderezebwa mu bikolwa Byo, era okugonderwa mu biragiro Byo, n’okusigala nga tokugirwa mukulagira Kwo.

  • Olwo ayimirire, ayimuse emikono gye waggulu, addingane emirundi essatu erinya erisingira ddala eryekitiibwa (Alláh-u- Abhá! Katonda yasinga bonna ekitiibwa) ate akutame nga emikono agitade ku mavivi ge mu maaso ga katonda - aweereddwa omukisa er’agulumizibwa – Ayatule nti :

Ggwe olaba, Ayi Katonda wange, nga emeeme yange etunduga mu nze, era mu kufaabiina kwaayo okukujukira n’okukutendereza. Nga eyayanira okukujukira n’okukugulumiza, era olaba bwekakasa ebyo olulimi olw’okulagira Kwo bye lukakasiza, mu bwakabaka bw’ebigambo Byo, era ne mu ggulu ly’okumanya Kwo. Njagala mu mbeera eno, Ayi Mukama wange, okukusaba ebyo byonna ebiri Naawe, ndyoke njolese obwavu bwange, ngulumize obugabi Bwo n’obuggaga Bwo, nangirire obuteesobola bwange, era njolese Okusobola Kwo n’obuyinza Bwo.

Olwo ayimirire, ayimuse emikono gye emirundi ebiri waggulu nga awanjagira omutonzi we ayatule nti: Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza byonna, Omugabi wa byonna. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, omulagizi alagira ku ntandikwa ate ne ku nkomerero. Ayi Katonda, Katonda wange! Okusonyiwa Kwo kumpadde obuvumu era n’ekisa Kyo kimpadde amaanyi era n’okukowola Kwo kunzuukusiza, era n’ekisa Kyo kinkulembedde nekintuuza Gyoli. Nze ani singa tekiri bwekityo, eyandyanganze okwesimba ku wankaaki w’ekibuga okyokubeera okumpi nawe, era okutunuza amaaso gange eri ekitangaala ekyaaka okuva mu ggulu ly’okwagala Kwo? Ggwe olaba, Ayi Mukama wange ekitonde kino ekirema nga kikonkona ku lugi lwekisa Kyo, omwoyo guno ogugwaawo nga gunonya omugga ogwa mazzi ag’obulamu obutagwawo okuva mu ngalo zo ezigabirira. Okulagira kukwo ekiseera kyonna, Ayi Ggwe mukama ow’amanya gonna, era okwange, kwe kukugondera era n’okwetowaliza okusiima kwo, Ayi Ggwe omutonzi w’eggulu!

  • Ate olwo ayimuse emikono gye, emirundi essatu, ayatule nti:

Katonda wakitiibwa nnyo okusinga owekibibwa omulala yenna!

  • Olwo afukamire, era avuname nga ekyenyi kye kiri ku ttaka, ayatule nti:

Oli mugulumivu nnyo okusinga okutendereza kwabo abali okumpi Nawe gyekuyinza okwambuka mu ggulu ly’okubeeera okumpi nawe, wadde emitima gyabo abewaddeyo gyoli okutuuka ku luggi lw’eggulu Lyo. Mpa obujulirwa nti ggwe watukuzibwa okusinga ebitukuvu byona byonna, era olimutukuvu okusinga amanya gonna. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, agulumizibwa ennyo,

  • Awo atuule wansi ayatule nti:

Mpa obujulizi kwekyo ebitonde byonna byebiwadeeko obujulizi, era neKibiina Kyabo abali waggulu, era nababeera eyo mu lusuku Lwo, oluli waggulu ennyo, ate okussukka ku bo, Olulimi Olwe Kitiibwa lwenyini, okuva mu bwengula obusingira ddala, kitiibwa nti Ggwe Katonda, nti tewali Katonda mulala wabula Ggwe, nti era n’oyo ayoleseddwa yewa magero omu kusike, akabonero ak’omuwendo, era Muye, enukuta, Ez’ekiragiro Eky’obutonzi B ne E (Wabeewo) mwezayungibwa era n’ezirukibwa wamu. Nkakasa nti yoyo erinya lye eryaweerezebwa wangi nakafumu k’Oyo ali wagulu ennyo, era Ayogerwako mu Bitabo bya Katonda, Mukama owa Nnamulondo ey’omuggulu, n’ekunsi.

  • Olwo oyimirire butengerera ayatule nti:

Ayi Mukama ow’ebitonde byonna era Nnanyini w’ebintu byonna ebirabika nebitarabika! Ggwe olaba amaziga gange, n’ebikkowe byenzisa, era owulira okukaaba kwange, n’okusinda era n’okukuba ebiwoobe kwange era nokwaziirana kw’omutima gwange. Olwamaanyi Go! Okwonona kwange kungaanye okusembera okumpi Nawe; era nebibi byange binkumiide wala okuva kuluja lwobutukirivu Bwo. Okwagala Kwo, Ayi Mukama wange, kungaggawazza, ate okwawu kana Ko ku nzi kirizza, era okubeera ewala okuva wali kumazewo. Nkwegayirira olwe enswagiro Zo mu ddungu lino, era olw’ebigambo; “Nze nzuuno, Nze Nzuuno” Abalonde Bo bye bogeredde mubwa guuga bensi eno, era ne kulw’omukka gw’okubikulirwa Kwo, n’empewo enteefu, ezamakya g’okubikulirwa Kwo, olagire nsobole okulaba ku bulungi Bwo, nokukuuma ebyo byonna ebiri mu Kitabo Kyo.

  • Olwo addingane Erinya Erisinga Ekitiibwa, (Alláh-u-Abhá!) emirundi essatu, akutame nga emikono gikute ku mavivi, ayatule nti:

Ettendo libe gyoli, Ayi Katonda wange, kubanga Onyambye okukujjukira n’okukutendereza, era omanyisiza Oyo ensibuko y’obubonero Bwo, nokuvuunama mumaso g’obwo Bukama Bwo era nokwetowaliza mumaaso g’ObwaKatonda Bwo, era n’okukkiriza ekyo ekyatuddwa Olulimi Lwo olw’ekitiibwa.

  • Olwo asitukke, ayatule nti:

Ayi Katonda, Katonda wange! Omugongo gwange gugoomye gwewese olw’omugugu gw’ebibi byange, era obutafaayo bwange bunzikkirizza. Bulilw’endowooza Byonoono byange ebingi n’obulungi Bwo, omutima gwange guzirika munda yange, n’omusaayi ne gwesera mu misuwa gyange. Kulw’obulungi Bwo Ayi Ggwe Ayegombebwa ensi! Nkwatibwa ensonyi okuyimusa amaaso gange gyoli, era emikono gyange egiyayaana giswata ekwegolovera eri eggulu ery’[/ekisakyo/ Kugaba Kwo/ Bugabibwa]. Ggwe olaba Ayi Katonda wange, nga amaziga gange bweganziyiza okukujjukira Gwe era n’okutedereza ebirungi Byo. Ayi Ggwe Mukama wa Nnamulondo eri waggulu mu ne kunsi wansi! Nkwegayirira Gwe olw’obubonero bw’obwakabaka Bwo era n’ebyamagero eby’amatwale Go okukolera abagalwa Bo, nga ekisakyo bwekigwanidde, Ayi Mukama ow’ebitonde byonna, era asaanidde ekisakye, Ayi Kabaka ow’ebirabika n’ebitalabika.

  • Olwo ate addemu Erinya ery’ekitiibwa (Alláh-u-Abhá!) emi rundi essatu, afukamire ng ‘avvunnamye wansi, ayatule nti:

Ettendo libe Gyoli Ayi Mukama waffe. Nga Ggwe eyatuweereza ekyo ekitusobozesa okusembera okumpi Nawe, era atuwa buli birungi byetwetaaga, bye watuweereza kunsi mu Bitabo Byo era ne mu Byawandiikibwa Byo. Tukuume, tukwegayiridde Gwe Mukama wange, okuva ku ggye ekyobulagajjavu nokulowoorereza okutarimu. Ggwe, mu mazima oli wabuyinza, Amanyi byonna.

  • Olwo ayimuse omutwe gwe, atuule wansi, ayatule nti:

Mpa obujulirizi, Ayi Katonda wange, kwekyo abalonde Bo kyebajulira, era nzikiriza ekyo abantu bomu lusuku lwa Katonda oli waggulu ennyo, era nabo abetoolodde Nnamulondo y’oBuyinza Bwo bye byebakkiriza. Obwakabaka bw’ensi neggulu buBwo, Ayi Ggwe Mukama owensi zonna!

BH03262 BH03262

Add range:
*…Okwejusa ebibi n’ebyonono eri abantu, tekiki rizibwa… Omwonoonyi alina okuda eri Katonda we, olwo n’awanjagira ekisa, ky’Oyo, nnyini nnyanja ey’ekisa, n’asaba ekusonyiyibwa okuva mu Ggulu ly’obugobi bwe, ayatule nti: Ayi Katonda wange, Ayi Katonda wange! Nkwegayirira kulw’omusaayi gw’abagalwa Bo, abesigwa, abo abasanyusibwa ennyo, ebigambo Byo, olwo ne beyunira ku ntiko y’ekitiibwa Kyo, mu kifo ky’obujulizi obusingira ddala ekitiibwa, era nkwegayirira kulw’ebyewunyo ebikwekeddwa mu magezi Go ag’omuwendo agali mu nnyanja ey’ekisa Kyo onsonyiwe ebyonoono byange, osonyiwe ne kitange wange ne mange. Mw’abo abalaga ekisa, Mu mazima Ggwe osingira ddala ekisa. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Asonyiwa bulijjo, Asingira ddala ekisa.
Ayi Mukama! Ggwe olabira ddala omwonoonyi ono nga akyukidde eri ennyanja y’ekisa Kyo, era omunafu ono nga anoonya Obwakabaka bw’amaanyi g’obutukuvu Bwo, era omunkuseere ono nga anuuka okutunuulira omusana gw’obugagga Bwo. Kulw’ekisa Kyo n’omukisa Gwo, tomusubya mukisa Gwo Ayi Mukama, wadde okumugaana okutuuka ku kubikkulirwa kw’obulungi Bwo, mu lunaku Lwo, oba okumugoba ku mulyango Gwo, ogwo Ggwe gw’oggudde, eri abo ababeera mu Ggulu Lyo ne Kunsi Yo. Woowe! Woowe! Ebibi byange bingaanye okutuuka mu mbuga ey’obutukuvu Bwo, era ebyonono byange bimbuziza ne ngenda wala okuva ku weema ey’obwakabaka Bwo. Nkoze ekyo Ggwe kye wangaana okukola, era, ne nteeka ku bbali, ekyo Ggwe kye wandagira okutuukiriza.
Nkusaba kulw’Oyo Mukama ow’Amannya gonna, ompandikire n’akafumo ak’omukisa Gwo, ekyo ekinanyamba okutuuka okumpi Nawe, era n’okunkokoolamu ebyonoono byange, ebyekiika wakati wange n’okusaalira Kwo n’okusonyiwa Kwo. Ddala ddala, Ggwe oti wa maanyi, Omugabi. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza byonna, ow’ekisa.